登录
Hoseya 10
LUG1969

Hoseya 10 (Luganda 1968)

1Isiraeri muzabbibu ogwera, oguleeta ebibala byagwo: ng'ebibala bye bwe byali ebingi, bw'atyo bw'ayongedde ebyoto bye; ng'ensi ye bwe yeeyongera okuba ennungi, empagi ze baakola bwe zaabanga ennungi bwe zityo. 2Omutima gwabwe gwawukanyeemu; kaakano banaalabika omusango nga gubasinze: alikuba ebyoto byabwe, alinyaga empagi zaabwe. 3Mazima kaakano banaayogera nti Tetulina kabaka: kubanga tetutya Mukama; ne kabaka ayinza kutukolera ki? 4Boogera ebigambo obugambo, nga balayira eby'obulimba mu kulagaana endagaano: omusango kyeguva gumerera mu mbibiro z'ennimiro ng'omususa. 5Abali mu Samaliya entiisa eribakwata olw'ennyana ez'e Besaveni: kubanga abantu baakyo balikiwuubaalira, ne bakabona baakyo abaakisanyukira, baliwuubaalira ekitiibwa kyakyo, kubanga kikivuddeko. 6Era nakyo kiritwalibwa e Bwasuli okuba ekirabo kya kabaka Yalebu: Efulayimu aliweebwa ensonyi, ne Isiraeri alikwatirwa ensonyi okuteesa kwe ye. 7Samaliya, kabaka waamu azikiridde ng'ejjovu ku mazzi. 8Era n'ebifo ebigulumivu eby'omu Aveni, okwonoona kwa Isiraeri, birizikirizibwa: amaggwa n'amatovu galimerera ku byoto byabwe; era baligamba ensozi nti Mutubikkeko; n'obusozi nti Mutugweko. 9Ai Isiraeri, wayonoonanga okuva ku nnaku ez'e Gibeya: baayimirira eyo; olutalo lwe balwana n'abaana ab'obujeemu luleme okubatuukirako mu Gibeya. 10Bwe ndiba nga njagadde, ndibakangavvula; n'amawanga galikuŋŋaanyizibwa okulwana nabo, bwe balisibibwa n'okusobya kwabwe kwombi. 11Era Efulayimu nte nduusi eyigirizibwa, eyagala okusamba eŋŋaano; naye nninnye mu bulago bwe obulungi. Nditeeka ku Efulayimu alimwebagala; Yuda alirima; Yakobo alikuba amavuunike. 12Mwesigire mu butuukirivu, mukungule ng'okusaasira bwe kuli; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime: kubanga obudde butuuse okunoonya Mukama, okutuusa lw'alijja n'abatonnyesaako obutuukirivu. 13Mulimye obubi, mukungudde obutali butuukirivu; mulidde ebibala eby'obulimba: kubanga weesiganga ekkubo lyo, olufulube lw'abasajja bo ab'amaanyi. 14Okusasamala kyekuliva kubeera mu bantu bo, n'ebigo byo byonna birinyagibwa, nga Sulumaani bwe yanyaga Beswaluberi ku lunaku olw'olutalo: nnyaabwe yatandaggirwa wamu n'abaana be. 15Era bw'atyo Beseri bw'alibakola olw'obubi bwammwe obwenkanidde awo: emmambya bw'eriba ng'esala, kabaka wa Isiraeri alizikirizibwa ddala.