Hoseya 12 (Luganda 1968)
1Efulayimu alya mpewo, era agoberera empewo ez'ebuvanjuba: tata kwongera bya bulimba na kuziika; era balagaana endagaano n'Obwasuli, n'amafuta gatwalibwa mu Misiri. 2Era Mukama alina empaka ne Yuda, era alibonereza Yakobo ng'amakubo ge bwe gali; alimusasula ng'ebikolwa bye bwe biri. 3Mu lubuto yamukwata muganda we ku kisinziiro; era bwe yakula n'aba n'obuyinza eri Katonda: 4weewaawo, yabanga n'obuyinza ku malayika n'awangula: yakaaba amaziga n'amwegayirira: yamulaba e Beseri, era eyo gye yayogerera naffe; 5Mukama Katonda ow'eggye; Mukama kye kijjukizo kye. 6Kale kyukira Katonda wo: okwatanga okusaasira n'omusango, omulindiriranga Katonda wo ennaku zonna. 7Musuubuzi, minzaani ey'obulimba eri mu mukono gwe: ayagala okujooga. 8Efulayimu n'ayogera nti Mazima ngaggawadde, nneefunidde ebintu: mu kutegana kwange kwonna tebalindabako butali butuukirivu bwonna obwandibadde ekibi. 9Naye nze ndi Mukama Katonda wo okuva mu nsi y'e Misiri; oliboolyawo ne nkutuuza mu weema nga ku nnaku ez'embaga ey'okwewombeekerako. 10Era nayogeranga ne bannabbi, era nnyongedde okwolesebwa; era nagereranga engero mu mukono gwa bannabbi. 11Gireyaadi butali butuukirivu? bo butaliimu bwereere; mu Girugaali gye basalira ente okuba ssaddaaka: weewaawo, ebyoto byabwe biri ng'ebifunvu mu mbibiro z'ennimiro: 12Awo Yakobo n'addukira mu nnimiro ya Alamu, Isiraeri n'aweereza omukazi, era n'alundira omukazi. 13Era Mukama n'aggya Isiraeri mu Misiri ku bwa nnabbi, era nnabbi ye yamuwonya. 14Efulayimu asunguwazizza nnyo nnyini: omusaayi gwe kyeguliva gusigala ku ye, n'ekivume kye Mukama we alikimusasula.

