Login
Yisaaya 47
LUG1969

Yisaaya 47 (Luganda 1968)

1Serengeta otuule mu nfuufu ggwe omuwala wa Babulooni atamanyi musajja; tuula ku ttaka awatali ntebe ya bwakabaka, ggwe omuwala w'Abakaludaaya: kubanga tebakyakuyitanga nyanyali era mwekanasi. 2Ddira emmengo ose obutta: bikkula ku maaso, ggyako ekirenge, bikkula ku kugulu, oyite mu migga. 3Obwereere bwo bulibikkuka, weewaawo, ensonyi zo zirirabika: ndiwalana eggwanga so sirikkiriza muntu yenna. 4Omununuzi waffe, Mukama ow'egge lye linnya lye, Omutukuvu wa Isiraeri. 5Tuula ng'osirise, weegendere mu kizikiza, ggwe omuwala w'Abakaludaaya: kubanga tebakyakuyitanga Mukyala wa mu bwakabaka. 6Nasunguwalira abantu bange, navumisa obusika bwange, ne mbawaayo mu mukono gwo: tewabasaasira n'akamu; ku bakadde obataddeko ekikoligo kyo kizito nnyo. 7N'oyogera nti Naabanga mukyala ennaku zonna: ebyo n'otobissa ku mwoyo so tewajjukira nkomerero yaabyo ya luvannyuma. 8Kale nno kaakano wulira kino, ggwe aweereddwa ejjaliri okwesiima, atuula ng'osiita, ayogera mu mutima gwo nti Wendi, so tewali mulala wabula nze; sirituula nga nnamwandu, so sirimanya kufiirwa baana: 9naye bino byombiriri birikujjira mangu ku lunaku lumu, okufiirwa abaana ne bunnamwandu: birikujjako mu kigera kyabyo ekituukiridde, obulogo bwo newakubadde nga bungi butya, n'obusawo bwo newakubadde nga busukkiridde obungi. 10Kubanga weesiga obubi bwo; wayogera nti Siriiko andaba; amagezi go n'okumanya kwo bye bikukyamizza: n'oyogera mu mutima gwo nti Wendi, so tewali mulala wabula nze. 11Obubi kyebuliva bukujjako; tolimanya mmambya yaabwo: n'akataali kalikugwako; toliyinza kukaggyawo: n'okuzika kulikujjako mangu ago kw'otomanyiridde. 12Yimirira nno n'obusawo bwo n'obulogo bwo obwayinga obungi, obwakutengezzanga okuva mu buto bwo; oba nga mpozzi oliyinza okugasa, oba nga mpozzi oliyinza okusobola. 13Abateesa naawe abayinga obungi bakukooyezza: abalaguza eggulu, abalengera emmunyeenye, abalanga eby'emyezi bayimirire nno bakulokole mu ebyo ebirikujjako. 14Laba, baliba ng'ebisusunku; omuliro gulibookya; tebalyewonya mu buyinza bw'omuliro: teguliba lyanda lya kwota, newakubadde kyoto eky'okutuulako. 15Bwe bityo bwe biriba gy'oli ebyo ebyakutengezzanga: abaagulaananga naawe okuva mu buto bwo balibulubuuta buli muntu ku luuyi lwe ye; tewaliba wa kukulokola.