Yona 2 (Luganda 1968)
1Awo Yona n'asaba Mukama Katonda we mu lubuto olw'ekyennyanja. 2N'ayogera nti Nakaabirira Mukama kubanga nalaba ennaku, N'anziramu; Mu lubuto lw'emagombe nakoowoola; N'owulira eddoboozi lyange. 3Kubanga wansuula mu buziba, mu mutima ogw'ennyanja, Amataba ne ganneetooloola; Amayengo go gonna n'amasingiisira go gaayita waggulu ku nze. 4Ne njogera nti Ngobeddwa mu maaso go; Naye naatunuulira nate yeekaalu yo entukuvu. 5Amazzi gansaanikira, era okutuuka ku bulamu; Obuziba bwanneetooloola; Endago zambikka ku mutwe gwange. 6Ne nzika ensozi we zisibuka; Ensi n'ebisiba byayo ne binzigalira emirembe gyonna; Naye oggyeemu obulamu bwange mu bunnya, ai Mukama, Katonda wange. 7Emmeeme yange bwe yazirika mu nze, ne njijukira Mukama; N'okusaba kwange ne kutuuka gy'oli, mu yeekaalu yo entukuvu. 8Abo abassaayo omwoyo ku by'obulimba ebitaliimu balekayo okusaasirwa kwabwe. 9Naye nze naakuwa ssaddaaka yange n'eddoboozi ery'okwebaza; Naasasula obweyamo bwange. Obulokozi buva eri Mukama. 10Awo Mukama n'alagira ekyennyanja ne kisesema Yona ku lukalu.

