Login
Mikka 2
LUG1969

Mikka 2 (Luganda 1968)

1Ziribasanga abo abateesa obutali butuukirivu, era abakolera obubi ku biriri byabwe! obudde bwe bukva, babukola, kubanga buli mu buyinza bw'emikono gyabwe. 2N'abo abeegomba ebyalo ne babinyaga; era ennyumba, ne bazitwala; era bajooga omusajja n'ennyumba ye, era omuntu n'obusika bwe. 3Mukama kyava ayogera bw'ati nti Laba, nteesa akabi ku kika kino, ke mutaliggyamu bulago bwammwe, so temulitambuza malala; kubanga bino bye biro ebibi. 4Ku lunaku luli balibagerera olugero, era balikuba ebiwoobe ebirimu obuyinike obungi, era balyogera nti Tunyagiddwa ddala; awaanyisa omugabo ogw'abantu bange; ng'akinziyako! agabira abajeemu ebyalo byaffe. 5Kyoliva olema okubeera n'omuntu alisuula omugwa, akalulu bwe kamugwako, mu kkuŋŋaaniro lya Mukama. 6Temulagulanga, bwe batyo bwe balagula. Tebaliragulira abo; ebivume tebiriggibwawo; 7kiryogerwa, ggwe ennyumba ya Yakobo, nti Omwoyo gwa Mukama gufunze? bino bye bikolwa bye? Ebigambo byange tebiwoomera oyo atambula n'obugolokofu? 8Naye mu nnaku zino abantu bange bayimuse ng'abalabe; muggyako essuuka ku ngoye z'abo abayita nga tebaliiko kye batya, ng'abantu abatayagala kulwana. 9Abakazi ab'abantu bange mubagoba mu nnyumba zaabwe ezibasanyusa; ku baana baabwe abato mubaggyako ekitiibwa kyange emirembe gyonna. 10Muyimuke, mugende; kubanga wano si kiwummulo kyammwe; olw'empitambi ezikiriza, era n'okuzikiriza okutenkanika. 11Omuntu atambula n'omwoyo ogw'okulimba, bw'alimba ng'ayogera nti Ndikulagulira eby'omwenge n'ebitamiiza, ye aliba omulaguzi ow'abantu bano. 12Sirirema kukuŋŋaanya ab'ewammwe bonna, ggwe Yakobo; sirirema kuleeta aba Isiraeri abalisigalawo; ndibateeka awamu ng'endiga eza Bozula; ng'ekisibo ekiri wakati w'eddundiro lyazo, baliyoogaana nnyo kubanga abantu bangi. 13Oyo awagula ayambuse mu maaso gaabwe; bawagudde bayise batuuse ku luggi olwa wankaaki, era bafulumidde omwo; era kabaka waabwe ayise mu maaso gaabwe, Mukama abakulembedde.