Engero 11 (Luganda 1968)
1Eminzaani ey'obulimba ya muzizo eri Mukama: Naye ekipima ekituufu ky'asanyukira. 2Amalala lwe gajja, lwe wajja n'ensonyi: Naye amagezi gaba n'abeetoowaza. 3Obutayonoona obw'abagolokofu bulibaluŋŋamya: Naye obubambaavu bw'abo abasala enkwe bulibazikiriza. 4Obugagga tebuliiko kye bugasa ku lunaku olw'obusungu: Naye obutuukirivu buwonya mu kufa. 5Obutuukirivu bw'oyo eyatuukirira bunaaluŋŋamyanga ekkubo lye: Naye omubi aligwa olw'obubi bwe ye. 6Obutuukirivu obw'abagolokofu bulibawonya: Abo abasala enkwe balikwasibwa n'ettima lyabwe bo. 7Omuntu omubi bw'afanga, okusuubira kwe kuzikiriranga: N'essuubi ery'obutali butuukikirivu libula. 8Omutuukirivu awonyezebwa mu nnaku, Omubi n'adda mu kifo kye. 9Atamanyi Katonda azikiriza munne n'akamwa ke: Naye abatuukirivu baliwonyezebwa olw'okumanya. 10Abatuukirivu bwe balaba ebirungi, ekibuga kisanyuka: Era ababi bwe babula, wabaawo okuleekaana. 11Omukisa ogw'abagolokofu gwe gugulumiza ekibuga: Naye akamwa k'ababi ke kakisuula. 12Anyooma munne abulwa amagezi: Naye omuntu alina okutegeera asirika. 13Atambulatambula ng'alyolyoma abikkula ebyama: Naye oyo alina omwoyo omwesigwa akisa ekigambo. 14Okuluŋŋamya okw'amagezi nga kubuze, abantu bagwa: Naye mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe. 15Eyeeyimirira oyo gw'atamanyi alibalagalwa: Naye akyawa obuyima anaabanga wa nkalakkalira. 16Omukazi ow'ekisa aguguba n'ekitiibwa: N'abasajja ab'amawaggali baguguba n'obugagga. 17Asaasira akola bulungi emmeeme ye ye: Naye omukambwe ateganya omubiri gwe ye. 18Omubi afuna empeera emulimbalimba: Naye oyo asiga obutuukirivu aba n'empeera ey'enkalakkalira. 19Anywerera mu butuukirivu ye alituuka mu bulamu: N'oyo agoberera obubi yetta yekka. 20Abo abalina omutima omukyamu ba muzizo eri Mukama: Naye abo abalina ekkubo eryatuukirira b'asanyukira. 21Omukono newakubadde nga gwegatta n'omukono, omuntu omubi taliwona kubonerezebwa: Naye ezzadde ery'abatuukirivu liriwonyezebwa. 22Ng'ekyobuyonjo ekya zaabu ekiri mu nnyindo y'embizzi, Bw'atyo bw'abeera omukazi omulungi atalina kuteesa. 23Abatuukirivu kye beegomba birungi bisa: Naye ababi kye basuubira busungu. 24Wabaawo asaasaanya ne yeeyongera nate okwala; Era wabaawo akodowala okusinga bwe kigwana, naye kireeta kwetaaga bwetaazi. 25Emmeeme egabagaba eneegejjanga: N'oyo afukirira amazzi, naye alifukirirwa yennyini. 26Amma eŋŋaano, abantu balimukolimira: Naye omukisa gunaabanga ku mutwe gw'oyo agitunda. 27Anyiikira okunoonyanga ebirungi, anoonyanga n'okuganja: Naye akenneenya ettima, linaamujjiranga. 28Eyeesiga obugagga bwe aligwa: Naye abatuukirivu banaayeranga ng'amalagala amabisi. 29Ateganya ennyumba ye ye alisikira empewo: N'omusirisuru aliba muddu w'oyo alina omutima ogw'amagezi. 30Ebibala by'omutuukirivu muti gwa bulamu: N'oyo alina amagezi afuna emmeeme z'abantu. 31Laba, omutuukirivu aliweebwa empeera mu nsi: Omubi n'omwonoonyi tebalisinga nnyo?

