Prijava
Engero 12
LUG1969

Engero 12 (Luganda 1968)

1Ayagala okubuulirirwa ayagala okumanya: Naye oyo akyawa okunenyezebwa aliŋŋanga ensolo. 2Omuntu omulungi anaaweebwanga Mukama ekisa: Naye omuntu ow'enkwe embi alimusalira omusango okumusinga. 3Omuntu taanywezebwenga lwa bubi: Naye emmizi gy'abatuukirivu tegijjululwenga ennaku zonna. 4Omukazi eyeegendereza ngule eri bba: Naye aswaza kivundu mu magumba ge. 5Ebirowoozo eby'abatuukirivu bya nsonga: Naye ababi bye bateesa bulimba. 6Ebigambo eby'ababi bya kutega musaayi: Naye akamwa k'abagolokofu kalibawonya. 7Ababi bameggebwa ne babula: Naye ennyumba ey'abatuukirivu eriyimirira. 8Omuntu alisiimibwa ng'amagezi ge bwe gali: Naye oyo alina omutima omukyamu alinyoomebwa. 9Oyo atayitibwa ka buntu, era alina omuddu, Asinga oyo eyessaamu ekitiibwa era abulwa eby'okulya. 10Omuntu omutuukirivu alowooza obulamu bw'ensolo ye: Naye okusaasira kw'ababi kukambwe. 11Alima ensi ye aliba n'emmere nnyingi: Naye agoberera abataliiko kye bagasa abuliddwa okutegeera. 12Omubi yeegomba ekitimba ky'abasajja ab'ekyejo: Naye ekikolo eky'abatuukirivu kibala ebibala. 13Mu kusobya kw'emimwa mulimu ekyambika eri omuntu ow'ekyejo: 14Omuntu alikkuta ebirungi olw'ebibala eby'akamwa ke: N'ebikolwa eby'emikono gy'omuntu alibisasulibwa. 15Ekkubo ery'omusirusiru ddungi mu maaso ge ye: Naye ow'amagezi awulira okuweererwa ebigambo. 16Okweraliikirira kw'omusirusiru kumanyibwa mangu ago: Naye omuntu omutegeevu akisa ensonyi. 17Ayatula eby'amazima ayolesa obutuukirivu, Naye omujulirwa ow'obulimba ayolesa obukuusa. 18Wabaawo ayogera ng'ayanguyiriza ng'okufumita okw'ekitala: Naye olulimi lw'ab'amagezi kwe kulaama. 19Omumwa ogw'amazima gunaanywezebwanga emirembe gyonna: Naye olulimi olulimba lwa kaseera buseera. 20Okudyeka kuli mu mitima gy'abo abateesa obubi: Naye abateesa emirembe baba n'essanyu. 21Omutuukirivu talibaako kabi k'aliraba: Naye ab'ekyejo balikkuta obubi. 22Emimwa egirimba gya muzizo eri Mukama: Naye abo abakola eby'amazima b'asanyukira. 23Omuntu omutegeevu akisa okumanya: Naye omutima gw'abasirusiru gulaalika obusirusiru. 24Omukono gw'abanyiikivu gulifuga: Naye omugayaavu balimukoza omulimu ogw'obuddu. 25Ennaku bwe ziba mu mutima gw'omuntu zigukutamya; Naye ekigambo ekirungi kigusanyusa. 26Omutuukirivu aba musaale eri munne: Naye ekkubo ery'ababi libawabya. 27Omuntu omugayaavu tayokya ekyo ky'akutte ng'ayigga; Naye ebintu eby'omuwendo omungi eby'abantu biba bya munyiikivu. 28Mu kkubo ery'obutuukirivu mwe muli obulamu; Ne mu luwenda lw'abo temuli kufa.