உள்நுழைக
Engero 13
LUG1969

Engero 13 (Luganda 1968)

1Omwana ow'amagezi awulira okuyigiriza kwa kitaawe: Naye omunyoomi tawulira kunenyezebwa. 2Omuntu anaalyanga ebirungi olw'ebibala eby'akamwa ke: Naye emmeeme ey'abasala enkwe eneeryanga kugirirwa kyejo. 3Akuuma akamwa ke anyweza obulamu bwe: Naye ayasama ennyo akamwa ke aliba n'okuzikirira. 4Emmeeme ey'omugayaavu yeegomba n'eteba na kintu: Naye emmeeme ey'abanyiikivu eneegejjanga. 5Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba: Naye omuntu omubi mugwagwa, era akwatibwa ensonyi. 6Obutuukirivu bukuuma oyo akwata ekkubo eggolokofu: Naye ekyejo kisuula oyo alina ebibi. 7Wabaawo eyeegaggawaza, naye nga talina kintu: Wabaawo eyeeyavuwaza, naye ng'alina obugagga bungi. 8Obugagga bwe bwe bununula obulamu bw'omuntu: Naye omwavu, tawulira kukanga kwonna. 9Omusana ogw'abatuukirivu gusanyuka: Naye ettabaaza ey'ababi erizikizibwa. 10Amalala galeeta okuwakana okwereere: Naye amagezi gaba n'abo abateesa obulungi. 11Obugagga obufunibwa olw'ebigambo ebitaliimu bulikendeezebwa: Naye oyo akuaanya ng'akola emirimu aliba n'okwala. 12Essuubi erirwawo lisinduukiriza emmeeme: Naye ekyegombebwa bwe kijja kiba muti gwa bulamu. 13Buli anyooma ekigambo yeereetako okuzikirira: Naye oyo atya ekiragiro aliweebwa empeera. 14Etteeka ery'omugezigezi nsulo ya bulamu, Okuva mu byambika eby'okufa. 15Okutegeera okulungi kuleeta okuganja: Naye ekkubo ery'abasala enkwe bbi. 16Buli muntu omutegeevu akola emirimu n'okumanya: Naye omusirusiru ayaliira obusirusiru. 17Omubaka ow'ekyejo agwa mu bubi: Naye omutume omwesigwa kwe kulaama. 18Obwavu n'ensonyi biriba by'oyo agaana okubuulirirwa: Naye assaayo omwoyo eri okuneenyezebwa alissibwamu ekitiibwa. 19Ekyegombebwa bwe kituukirira kiwoomera emmeeme: Naye okuva mu bubi kwa muzizo eri abasirusiru. 20Otambulanga n'abantu ab'amagezi, naawe oliba n'amagezi: Naye munnaabwe w'abasirusiru alibalagalwa. 21Obubi bugoberera abalina ebibi: Naye abatuukirivu balisasulibwa ebirungi. 22Omuntu omulungi alekera obusika abaana b'abaana be: N'obugagga bw'oyo alina ebibi buterekerwa omutuukirivu. 23Mu nnimiro ez'abaavu mulimu emmere nnyingi: Naye wabaawo azikirizibwa olw'obutagoberera nsonga. 24Atakwata muggo gwe akyawa omwana we: Naye oyo amwagala amukangavvula ebiro nga bikyali. 25Omutuukirivu alya, emmeeme ye n’ekkuta: Naye olubuto lw'ababi lulirumwa enjala.