ലോഗിൻ
Engero 15
LUG1969

Engero 15 (Luganda 1968)

1Okuddamu n'eggonjebwa kukyusa ekuruyi: Naye ekigambo eky'ekkayu kisaanuula obusungu. 2Olulimi lw'ab'amagezi lwogera okumanya nga bwe kisaana: Naye akamwa k'abasirusiru kayiwa obusirusiru. 3Amaaso ga Mukama gaba mu buli kifo, Nga galabirira ababi n'abalungi. 4Olulimi oluwonya muti gwa bulamu: Naye bwe luba n'obukyamu, omwoyo gumenyeka. 5Omusirusiru anyooma okubuulirira kwa kitaawe: Naye oyo assaayo omwoyo eri okunenya afuna obutegeevu. 6Mu nnyumba ey'omutuukirivu mubaamu obugagga bungi: Naye mu magoba ag'omubi mulimu okulaba ennaku. 7Emimwa gy'ab'amagezi gibunya okumanya: Naye omutima gw'abasirusiru si bwe gukola. 8Ssaddaaka ey'omubi ya muzizo eri Mukama: Naye okusaba kw'abagolokofu kw'asanyukira. 9Ekkubo ery'omubi lya muzizo eri Mukama: Naye ayagala oyo agoberera obutuukirivu. 10Waliwo okubuulirirwa okuzibu eri oyo aleka ekkubo lyennyini: Era oyo akyawa okunenyezebwa alifa. 11Amagombe n'okuzikirira biri mu maaso ga Mukama: Kale emitima gy'abaana b'abantu tegisinga nnyo? 12Omunyoomi tayagala kunenyezebwa: Tayagala kugenda eri ab'amagezi: 13Omutima ogujaguza gusanyusa amaaso: Naye obuyinike obw'omutima bwe bumenya omwoyo. 14Omutima gw'oyo alina okutegeera gunoonya okumanya: Naye akamwa k'abasirusiru emmere yaako busirusiru. 15Ennaku zonna ez'abo ababonyaabonyezebwa mbi: Naye oyo alina omutima ogujaguza alya embaga etevaawo. 16Akatono akaliko okutya Mukama Kasinga obugagga bungi obuliko obuyinike. 17Amaluma awali okwagalaaa Gasinga ente eya ssava awali okukyawagana. 18Omuntu ow'obusungu asaanuula oluyombo: Naye alwawo okusunguwala akkakkanya empaka. 19Ekkubo ery'omugayaavu liri ng'olukomera olw'amaggwa: Naye oluwenda olw'abagolokofu lufuuka oluguudo. 20Omwana ow'amagezi asanyusa kitaawe: Naye omuntu omusirusiru anyooma nnyina. 21Obusirusiru buba ssanyu eri oyo atalina magezi: Naye omuntu alina okutegeera aluŋŋamya amagenda ge. 22Awatali magezi okuteesa kufa: Naye kunywerera mu lufulube lw'abo abateesa ebigambo. 23Omuntu asanyukira okuddamu okw'omu kamwa ke: N'ekigambo ekijjira mu ntuuko zaakyo nga kirungi! 24Eri ow'amagezi ekkubo ery'obulamu lyambuka waggulu, Alyoke ave mu magombe wansi. 25Mukama alisimbula ennyumba ey'ab'amalala: Naye alinyweza ensalo ya nnamwandu. 26Okusala enkwe embi kwa muzizo eri Mukama: Naye ebigambo ebisanyusa biba birongoofu. 27Ayaayaanira amagoba ateganya ennyumba ye ye: Naye akyawa enguzi ye anaabanga omulamu. 28Omutima gw'omutuukirivu gufumiitiriza okwanukula: Naye akamwa k'ababi kafuka ebitasaana. 29Mukama aba wala ababi: Naye awulira okusaba kw'abatuukirivu. 30Omusana ogw'amaaso gusanyusa omutima: N'ebigambo ebirungi bigezza amagumba. 31Okutu okuwulira okunenya okw'obulamu Kunaabeeranga mu b'amagezi. 32Agaana okubuulirirwa anyooma emmeeme ye: Naye oyo awulira okunenya afuna okutegeera. 33Okutya Mukama amagezi kwe gayigiriza; Era okwetoowaza kukulembera ekitiibwa.