Engero 2 (Luganda 1968)
1Mwana wange, bw'onokkirizanga ebigambo byange, N'oterekanga ebiragiro byange ewuwo; 2N'okutega n'oteganga okutu kwo eri amagezi N'ossangayo omutima gwo eri okutegeera; 3Weewaawo, bw'onookaabiranga okumanya, N'oliriranga okutegeera. 4Bw'onooganoonyanga nga ffeeza, N'ogakenneenyanga ng'eby'obugagga ebyakwekebwa; 5Kale lw'olitegeera okutya Mukama, N'ovumbula okumanya Katonda. 6Kubanga Mukama awa amagezi; Mu kamwa ke mwe mufuluma okumanya n'okutegeera: 7Aterekera abagolokofu amagezi amatuufu, Aba ngabo eri abo abatambulira mu butayonoona; 8Alyoke akuume amakubo ag'omusango, Era awonye okutambula kw'abatukuvu be. 9Kale lw'olitegeera obutuukirivu n'omusango, N'eby'ensonga, weewaawo buli kkubo eddungi. 10Kubanga amagezi ganaayingiranga mu mutima gwo, N'okumanya kunaawoomeranga emmeeme yo; 11Okuteesa kunaakulabiriranga. Okutegeera kunaakukuumanga: 12Okukuwonyanga mu kkubo ery'obubi, Eri abasajja aboogera eby'ekyejo; 13Abaleka amakubo ag'obugolokofu, Okutambuliranga mu makubo ag'ekizikiza; 14Abasanyuka okukola obubi, N'ekyejo eky'omubi kye kibawoomera; 15Amakubo gaabwe makyamukyamu, N'okugenda kwabwe kwenyoolanyoola: 16Okukuwonyanga eri omukazi omugenyi, Eri omugenyi anyumiriza n'ebigambo bye; 17Aleka omukwano ogw'omu buto bwe, Ne yeerabira endagaano ya Katonda we: 18Kubanga ennyumba ye etwala mu kufa, N'amakubo ge eri abafu: 19Tewali abagenda gy'ali abadda nate, So tebatuuka mu makubo ag'obulamu: 20Olyoke otambulirenga mu kkubo ery'abasajja abalungi, N'okwata empenda ez'abatuukirivu. 21Kubanga abagolokofu banaabeeranga mu nsi, N'abo abatuukirira balisigala omwo. 22Naye ababi balimalibwawo okuva mu nsi, N'abo abasala enkwe balisimbulirwamu ddala.

