Login
Engero 23
LUG1969

Engero 23 (Luganda 1968)

1Bw'otuulanga ku mmere wamu n'omukungu, Olowoolezanga ddala oyo ali mu maaso go; 2Era weeteekenga akambe ku bulago bwo, Oba nga oli muntu muluvu. 3Teweegombanga nva ze ennungi; Kubanga bye byokulya eby'obulimba. 4Teweekooyanga okuba omugagga; Vanga ku magezi go ggwe. 5Oneekalirizanga amaaso ku ekyo ekitaliiwo? Kubanga mazima obugagga bwefunira ebiwaawaatiro, Ng'empungu ebuuka mu bbanga. 6Tolyanga mmere y'oyo alina eriiso ebbi, So teweegombanga nva ze nnungi: 7Kubanga nga bw'alowooza mu nda ye, bw'ali bw'atyo: Lya, nywa, bw'akugamba; Naye omutima gwe teguli wamu naawe. 8Ennoga gy'olidde onoogisesema, N'ofiirwa ebigambo byo ebirungi. 9Toyogeranga omusirusiru ng'awulira; Kubanga anaanyooma amagezi ag'ebigambo byo. 10Tojjululanga kabonero ka nsalo ak'edda; So toyingiranga mu nnimiro ez'abatalina bakitaabwe: 11Kubanga omununuzi waabwe wa maanyi; Anaawozanga ensonga yaabwe naawe. 12Ssangayo omutima gwo eri okuyigirizibwa, N'amatu go eri ebigambo eby'okumanya. 13Tolekanga kubuulirira omwana: Kubanga bw'onoomukubanga n'omuggo, talifa. 14Omukubanga n'omuggo, N'owonya emmeeme ye mu magombe. 15Mwana wange, omutima gwo oba nga gwa magezi, Omutima gwange gunaasanyuka, ogwange: 16Weewaawo, emmeeme yange eneesanyuka, Emimwa gyo bwe gyogera eby'ensonga. 17Omutima gwo gulemenga okukwatirwa obuggya abalina ebibi: Naye obeerenga mu kutya Mukama okuzibya obudde: 18Kubanga mazima empeera weeri; N'essuubi lyo teririmalibwawo. 19Mwana wange, wulira obeerenga n'amagezi, Oluŋŋamyenga omutima gwo mu kkubo. 20Tobanga ku muwendo gw'abo abeekamirira omwenge; Mu abo abeevuubiika ennyama: 21Kubanga omutamiivu n'omuluvu balituuka mu bwavu N'okubongoota kunaayambazanga omuntu enziina. 22Owuliranga kitaawo eyakuzaala, So tonyoomanga nnyoko ng'akaddiye. 23Gulanga amazima, so togatundanga; Weewaawo, amagezi n'okuyigirizibwa n'okutegeera. 24Kitaawe w'omutuukirivu anaasanyukanga nnyo: N'oyo azaala omwana ow'amagezi anaabanga n'essanyu. 25Kitaawo ne nnyoko basanyukenga, N'omukazi eyakuzaala ajaguzenga. 26Mwana wange, mpa omutima gwo, N'amaaso go gasanyukirenga amakubo gange. 27Kubanga omukazi omwenzi lukonko luwanvu; N'omukazi omugenyi bunnya bwa kanyigo. 28Weewaawo; ateega ng'omunyazi, Era ayaza abasala enkwe mu bantu. 29Ani alaba obuyinike? ani alaba ennaku? ani alina ennyombo? Ani alina okwemulugunya? ani alina ebiwundu eby'obwereere? Ani amyusa amaaso? 30Abo abalwawo ku mwenge; Abo abagenda okunoonya omwenge omutabule. 31Totunuuliranga mwenge nga gumyuse, Bwe gwolesanga ebbala lyagwo mu kikompe, Bwe gukka empola: 32Enkomerero guluma ng'omusota, Gusonsomola ng'embalasaasa. 33Amaaso go galiraba eby'ekitalo, N'omutima gwo gulyogera ebigambo eby'obubambaavu. 34Weewaawo, oliba ng'oyo agalamira wakati mu nnyanja, Oba ng'oyo agalamira waggulu ku mulongooti. 35Bankubye, bw'olyogera bw'otyo, ne ssirumwa; Bankubye, ne ssiwulira: Ndyebaka ddi? naagunoonya nate omulundi ogw'okubiri.