Zabbuli 97 (Luganda 1968)
1Mukama afuga; ensi esanyuke: Ebizinga bijaguze bwe byenkana obungi. 2Ebire n'ekizikiza bimwetooloola: Obutuukirivu n'omusango bye binyweza entebe ye. 3Omuliro gumukulembera, Gwokya abalabe be eruuyi n’eruuyi. 4Enjota ze zaamulisa ensi: Ensi n'eraba n'ekankana. 5Ensozi z'asaanuuka ng'envumbo awali Mukama, Awali Mukama w'ensi zonna. 6Eggulu libuulira obutuukirivu bwe, N'amawanga gonna galabye ekitiibwa kye. 7Bakwatibwe ensonyi bonna abasinza ebifaananyi ebyole, Abeenyumiriza olw'ebifaananyi: Mumusinze ye, mmwe bakatonda mwenna. 8Sayuuni yawulira n'asanyuka, N'abawala ba Yuda ne bajaguza; Olw'emisango gyo, ai Mukama. 9Kubanga ggwe, Mukama, oli waggulu nnyo ku nsi zonna: Ogulumizibwa okusinga ennyo bakatonda bonna. 10Kale mmwe abaagala Mukama, mukyawe obubi: Akuuma emmeeme z'abatukuvu be; Abawonya mu mukono gw'omubi. 11Omusana gwasigirwa omutuukirivu, N'essanyu oyo alina omutima ogw'amazima. 12Musanyukire Mukama, mmwe abatuukirivu Era mwebaze erinnya lye ettukuvu.

