Engero 24 (Luganda 1968)
1Tokwatirwanga buggya abantu ababi, So teweegombanga okuba awamu nabo: 2Kubanga omutima gwabwe guteesa okujooga, N'emimwa gyabwe gyogera ku ttima. 3Amagezi ge gazimbya ennyumba; N'okutegeera kwe kuginyweza: 4N'okumanya kwe kujjuza ebisenge Obugagga bwonna obw'omuwendo omungi era obusanyusa. 5Omuntu ow'amagezi aba wa maanyi; Weewaawo, omuntu alina okumanya ayongera obuyinza. 6Kubanga olirwana olutalo lwo n'okuteesa okw'amagezi: Era mu bateesa ebigambo abangi mwe muli emirembe. 7Amagezi magulumivu nnyo, galema omusirusiru: Tayasama kamwa ke mu mulyango. 8Agunja okukola obubi, Abantu balimuyita omuntu ow'ettima. 9Okulowooza kw'omusirusiru kwonoona: Era omunyoomi wa muzizo eri abantu. 10Bw'ozirika ku lunaku olw'okulabirako obuyinike, Amaanyi go nga matono. 11Obawonyanga abo abatwalibwa okuttibwa, N'abo abagenda okuttibwa obalekanga. 12Bw'onooyogeranga nti Laba, tetwamanya kino: Oyo apima emitima takirowooza? N'oyo akuuma emmeeme yo takimaayi? Era talisasula buli muntu ng'omulimu gwe bwe guli? 13Mwana wange, olyanga omubisi gw'enjuki, kubanga mulungi; N'ebisenge byazo ebiwoomera amatama go. 14Onoomanyanga ng'amagezi gawoomera bwe gatyo emmeeme yo: Oba ng'ogalabye, awo walibaawo empeera, N'essuubi lyo teririmalibwawo. 15Toteegera ku nnyumba ya mutuukirivu, ggwe omuntu omubi; Tonyaga kifo ky'awummuliramu: 16Kubanga omuntu omutuukirivu agwa emirundi musanvu n'ayimuka nate: Naye ababi obuyinike bubasuula. 17Tosanyukanga omulabe wo bw'agwanga, So n'omutima gwo gulemenga okusanyuka bw'ameggebwanga: 18Mukama alemenga okukiraba ne kimunyiiza, N'akyusa obusungu bwe okumuvaako. 19Teweeraliikiriranga olw'abo abakola obubi; So tokwatirwanga buggya ababi: 20Kubanga tewaliba mpeera eri omuntu omubi; Ettabaaza ey'ababi erizikizibwa. 21Mwana wange, otyanga Mukama ne kabaka: So teweetabulanga n'abo abaagala okujjululajjulula. 22Kubanga obuyinike bwabwe buliyimuka nga tebamanyiridde; Era ani amanyi okuzikirira kwabwe bombi? 23Era na bino bigambo bya bagezigezi. Okusosola mu bantu bw'osala emisango si kirungi. 24Agamba omubi nti Ggwe mutuukirivu; Abantu banaamukolimiranga, amawanga ganaamutamwanga: 25Naye abo abamunenya be baliba n'essaayu, N'omukisa omulungi gulibatuukako. 26Addamu eby'ensonga Anywegera emimwa. 27Teekateekanga omulimu gwo ebweru, Ogwetegekerenga mu nnimiro; Oluvannyuma n'olyoka ozimba ennyumba yo. 28Tolumirizanga munno awatali asonga: So tolimbanga na mimwa gyo. 29Toyogeranga nti Ndimukola nga ye bw'ankoze nze; Ndisasula omusajja oyo ng'omulimu gwe bwe gubadde. 30Nayita ku nnimiro ey'omugayaavu, N'olusuku olw'emizabbibu lw'oyo atalina kutegeera; 31Kale, laba, amaggwa nga galubunye lwonna, Omwennyango nga gubisse ku lwo kungulu, N'olukomera lwalwo olw'amayinja nga lusuuliddwa. 32Awo ne ntunula ne ndowooza nnyo: Nalaba ne mpeebwa okuyigirizibwa. 33Wakyaliwo okwebaka kutono, okubongoota kutono, Okufunya engalo okwebaka kutono: 34Bwe kityo obwavu bwo bulituuka ng'omunyazi; N'okwetaaga kwo ng'omusajja akutte ebyokulwanyisa.

